Exodus 34:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Aroni n'Abayisirayeli ne balaba nga Musa olususu lw'ekyenyi kye lutangalijja, ne batya okumusemberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Alooni n’abaana ba Isirayiri bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng’obwenyi bwe bumasamasa; ne batya okumusemberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, obwenyi bwe nga bumasamasa; ne batya okumusemberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni n'Abayisirayeli bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng'amaaso ge gaakaayakana, ne batya okumusemberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, omubiri ogw'amaaso ge ne gumasamasa; ne batya okumusemberera.