Exodus 34:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Abayisirayeli bonna ne basembera, n'abatuusaako ebiragiro byonna Omukama bye yali amuwadde ku lusozi Sinayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma abaana ba Isirayiri bonna ne basembera, n’abategeeza amateeka gonna Mukama ge yamulagira ku lusozi Sinaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera; n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma Abayisirayeli bonna ne basembera w'ali. Musa n'abawa ebiragiro byonna, Mukama bye yamuweera ku Lusozi Sinaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera: n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi.