Exodus 34:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli baalabanga amaaso ga Musa ng'olususu lw'ekyenyi kya Musa lutangalijja, ye n'addamu okubikka amaaso ge ekirembe okutuusa lwe yayingiranga okwogera n'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
baalabanga obwenyi bwe nga bumasamasa. Bw’atyo Musa ne yezzaako olugoye olubikka obwenyi bwe, okutuusa lwe yaddangayo eri Mukama okwogera naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, obwenyi bwe nga bumasamasa; Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baalabanga ekyenyi kye nga kyakaayakana. Olwo Musa ne yeebikkanga ekitambaala mu maaso, okutuusa lwe yayingiranga okwogera ne Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, omubiri ogw'amaaso ge nga gumasamasa: Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.