Exodus 34:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ayita mu maaso ge, ng'alaamiriza nti: “Omukama, Omukama, Katonda ow'ekisa, omusaasizi, atasunguwala mangu, ajjudde ekisa n'obwesigwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayita mu maaso ge, n'ayatula nti, “Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ayita mu maaso ga Musa n'ayatula nti: “Nze MUKAMA. Mukama, Katonda omusaasizi era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, alina okwagala okungi n'obwesigwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayita mu maaso ge, n'atendera nti Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi;