Exodus 34:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
akuumira enkumi ekisa kye, asonyiwa ekyonoono, obujeemu, n'ekibi, sso nga taleka kya kubonereza nga tekibonerezeddwa, abonereza ekyonoono ky'abazadde abasajja mu batabani baabwe ne mu bazzukulu okutuuka ku zzadde eryokusatu n'eryokuna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akuuma okwagala eri enkumi n’enkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebisobyo bya bakadde baabwe n’ebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi, era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
addiramu abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa okwonoona, obujeemu n'ebibi, atalema kubonereza oyo azzizza omusango, era abonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku bannakasatwe ne ku bannakana, olw'ebibi bya bazadde baabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi: era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana.