Exodus 34:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Mukama, oba ddala nga nsanze ekisa mu maaso go, nkwegayiridde Mukama wange agende naffe. Newandibadde bantu ba nsingo nkakanyavu, tusonyiwe ebisobyo n'ebibi byaffe, otwebonanye ng'obusika bwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Bwe mba kaakano nga N'alaba ekisa mu maaso go, ayi Mukama, Mukama atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ayi Mukama, oba nga ddala nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde, genda wamu naffe. Abantu bano ba mitima mikakanyavu, naye tusonyiwe ebibi byaffe n'okwonoona kwaffe, era tukkirize okuba abantu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Bwe mba kaakano nga naalaba ekisa mu maaso go, ai Mukama, Mukama; atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.