Exodus 35:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagamba nti: “Bino bye bintu Omukama bye yalagira okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Bino bye bintu Mukama by’abalagidde okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti, “Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayita ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. Ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Bino Mukama by'abalagidde mmwe okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola.