Exodus 35:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukola kwa kubangawo ennaku mukaaga, naye olwomusanvu lwa kubeeranga lutukuvu gye muli, Sabbaato ey'okuwummula okussaamu Mukama ekitiibwa. Buli akolanga omulimu ku olwo wa kuttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, Ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama; buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku omukaaga ze zinaakolerwangamu emirimu, naye olunaku olw'omusanvu lunaabanga lunaku lwammwe, lukulu lwa kuwummula, oluweereddwayo eri Mukama. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku olwo, anattibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama: buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga.