Exodus 35:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna omutima gwe gwasindika n'omwoyo gwe gwasindika okuwa n'ajja n'aleeta ekitone ky'Omukama kikole Weema ey'Ensisinkano n'emirimu gyayo gyonna, n'ebyambalo ebitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu eyayagala, n'aleetera Mukama ekirabo, olw'omulimu ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'okukola ebyetaagibwa mu yo, era n'okukola ebyambalo bya bakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)