Exodus 35:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna mu mutima abeeyagalidde bajja: abasajja n'abakazi, nga baleeta ebikwaso, empeta, amagemu, ebibira, eby'omuwendo ebya zaabu ebya buli ngeri, buli omu n'atonera Omukama zaabu ng'ekitone eky'okuwuuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja n’abakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso eby’omuwendo, empeta ez’omu matu, n’empeta ez’oku ngalo, n’ebikomo, n’ebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu n’awaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemo, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja n'abakazi bonna abaayagala, ne baleeta ebikwaso, empeta ez'oku matu n'ez'oku ngalo, emikuufu egy'omu bulago, n'eby'omuwendo byonna ebya zaabu, ne babiwaayo eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemu, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama.