Exodus 35:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abaali ab'okuwa ekitone ekya ffeeza n'ekikomo ne baleeta ekitone ky'Omukama. N'abo bonna abaali balina emiti egy'akasaana olwa buli mulimu ne bagireeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu eyalina eky’okuwaayo ekya ffeeza oba eky’ekikomo, yakireeta n’akiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta n’aluwaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama; na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu eyasobola okuwaayo ekirabo ekya ffeeza oba eky'ekikomo, n'akireetera Mukama. Buli muntu eyalina omuti ogwa akasiya oguyinza okukozesebwa ku mulimu, n'aguleeta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama: na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta.