Exodus 35:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulembeze ne baleeta amayinja oniki n'amayinja ag'okuteeka ku efodi ne ku kipaapi eky'oku kifuba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omukifuba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze ne baleeta amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika n'amalala ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba;