Exodus 35:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja bonna n'abakazi Abayisirayeli omutima gwabwe be gwasindika okugabira omulimu gwonna Omukama gwe yali alagidde okukolebwa ng'ayita mu Musa, ne baleetera Omukama ekitone kyabwe ekyeyagalire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, nga bwe bakubirizibwa mu mitima gyabwe, okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna abasajja n'abakazi abaayagala okubaako bye baleeta ebyetaagibwa ku mulimu, Mukama gwe yalagira Musa okukola, ne babireetera Mukama, awatali kuwalirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, emitima gyabwe be gyakkirizisa okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa.