Exodus 35:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ye ne Oliyabu mutabani wa Akisamaki ow'ekika kya Daani, abawadde ekirabo eky'okuyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era aluŋŋamizza okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama amuwadde ye, ne Oholiyaabu, mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, amagezi okuyigiriza abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ateese mu mutima gwe okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani.