Exodus 35:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku byammwe muggyeeko ekitone ky'Omukama. Buli ayagadde okuwa aleete ekitone ky'Omukama: zaabu, ffeeza n'ekikomo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bw’ayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama: “zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama; buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama: zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muweeyo ekirabo eri Mukama. Buli alina omutima omugabi, aleetere Mukama ekirabo: zaabu, ffeeza n'ekikomo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama: buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama; zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo;