Exodus 35:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuzigo ogw'omu ttawaaza, n'ebyakaloosa ebissibwa mu muzigo ogusiigibwa n'obubaani obw'akawoowo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amafuta g’ettaala, n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amafuta g'ettaala, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amafuta g'ettaala, ebyakawoowo ebitabulwa mu muzigo ogusiigibwa, ne mu bubaane obw'okunyookeza;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;