Exodus 35:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amayinja oniki n'amayinja ag'okussa ku efodi ne ku kipaapi eky'oku kifuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi era ne ku kyomukifuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omukifuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika, n'amayinja amalala ag'omuwendo, ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba, ebya ssaabakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba.