Exodus 36:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bezaleli ne Oliyabu n'abantu abalala abagezi Omukama be yali awadde amagezi, okutegeera n'okumanya emirimu gyonna egy'obufundi mu kuzimba Ekitukuvu ba kutuukiririza ddala byonna ebyetaagibwa mu kuzimba Ekitukuvu, ng'Omukama bw'alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bw’alagidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina obusobozi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abakozi abalala, Mukama b'awadde amagezi n'okutegeera, era abamanyi okukola buli kintu ekyetaagibwa okuzimba Eweema Entukuvu, bajja kukola byonna nga Mukama bwe yalagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina omutima ogw'amagezi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.