Exodus 36:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassa eŋŋango eza bbululu ku mukugiro ogw'omutanda ogusembayo ku lubu olw'emitanda etaano olusooka; yakola kye kimu ne ku mukugiro ogw'omutanda ogusembayo ku lubu olwokubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe etaano, era ne batunga n’eŋŋango endala mu ngeri y’emu ku ludda olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakola eŋŋango ez'olugoye olwa bbululu ku lukugiro lwa buli mutanda ogw'oku mabbali w'emitanda emigatte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte: era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.