Exodus 36:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, n'agatta emitanda gumu ku gunnaagwo n'ebikwaso; bwe kityo Ekisulo ne kiba kintu kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; eweema ya Mukama n’ebeera wamu nga nnamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'akola ebikwaso ebya zaabu ataano (50), n'agatta emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso; eweema n'ebeera emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ne bagatta wamu emitanda gyombi, ne bakolamu Eweema Entukuvu emu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'akola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, n'agatta emitanda gyokka m gyokka n'ebikwaso: eweema n'ebeera emu.