Exodus 36:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuwanvu bw'omutanda kinnagumu bwali emikono asatu, obugazi emikono ena; emitanda ekkumi n'ogumu gyalina obunene bumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entimbe zonna ekkumi n’olumu zaali zenkanankana: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, obugazi zaali mita emu n’obutundu munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono asatu (30), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda kkumi na gumu (11) gyali gya kigero kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emitanda ekkumi n'ogumu gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na ssatu obuwanvu, ne mita bbiri obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu gyali gya kigero kimu.