Exodus 36:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'alyoka atumya Bezaleli ne Oliyabu n'abantu bonna abakugu, Omukama be yali awadde obukugu, omutima gwabwe nga gubasindise, bajje bakole omulimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina obusobozi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe; buli muntu nga bwe yakubirizibwa mu mutima gwe okujja okukola omulimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayita Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abalala bonna abakugu, Mukama be yawa amagezi abaali baagala okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina, omutima ogw'amagezi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe, buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza okujja ku mulimu okugukola: