Exodus 36:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lubaawo lwaliko emikono kkumi obuwanvu, ate omukono gumu n'ekitundu obugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lubaawo lwali mita nnya n’ekitundu obuwanvu, ate ng’obugazi zaali sentimita nkaaga mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emikono kkumi (10) bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lubaawo lwali lwa mita nnya obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emikono kkumi bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo.