Exodus 36:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lubaawo yalussaako emirumyo ebiri ebiri, bw'atyo bwe yakola ne ku mbaawo zonna ez'Ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lubaawo baaluteekako obubaawo obuyiseemu bubiri, obw’okukozesa mu kugatta, nga bulekawo amabanga agenkanankana. Embaawo zonna ez’entobo ya Weema ya Mukama bwe baazikola bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka; bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga luliko ennimi bbiri, embaawo kwe zisobola okugattirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka: bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema.