Exodus 36:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisulo yakikolera embaawo amakumi abiri ku luuyi lw'emaserengeta nga zitunuulidde emaserengeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baakola embaawo amakumi abiri ne bazissa ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola embaawo ez'eweema; embaawo abiri (20) ez'oluuyi lw'obukiikaddyo, mu bukiikaddyo obwa ddyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakola embaawo amakumi abiri, ez'oludda olw'ebukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola embaawo ez'eweema; embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo: