Exodus 36:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yawoola entobo amakumi ana eza ffeeza ku lw'embaawo amakumi abiri; entobo bbiri wansi w'olubaawo olusooka olw'emirumyo gyazo ebiri, ne ku luddako entobo bbiri olw'emirumyo gyazo ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ne bakola obubya obutono obwa ffeeza amakumi ana, ne babussa wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'akola ebinnya ebya ffeeza ana (40) wansi w'embaawo abiri (20); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne bakola ebinnya amakumi ana ebya ffeeza wansi waazo, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo, omw'okuteeka ennimi zaalwo ebbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'akola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri.