Exodus 36:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ezanywezebwa entobo amakumi ana eza ffeeza, entobo bbiri wansi wa buli lubaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri nga ziri wansi wa buli lubaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebinnya byazo ebya ffeeza ana (40); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.