Exodus 36:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezo zaagattibwa bbiri wamu okuva wansi okutuukira ddala waggulu ne zisibwa n'empeta embereberye; n'embaawo ebbiri ez'ensonda endala bbiri bwe yazikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nsonda zino ebbiri, embaawo zombi baazisiba wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ne bazinyweza n’empeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu; bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezo zombi baazigatta okuva wansi okutuukira ddala waggulu, ne bazisiba n'empeta emu. Bwe batyo bwe baakola embaawo zombi ez'omu nsonda ebbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu: bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi.