Exodus 36:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baggya ewa Musa ebitone byonna Abayisirayeli bye baali baleese olw'omulimu ogw'okuzimba Ekitukuvu. Abalala ne bongera okuleeta ebitone byabwe buli nkya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abawa eby'okukozesa, abaana ba Isiraeri bye baaleeta olw'okukola emirimu egy'omu watukuvu. Era buli nkya ne baleetanga ebintu, bye bawangayo oby'okukozesanga nga tebawalirizibbwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abakwasa ebirabo byonna, Abayisirayeli bye baaleeta okuzimba Eweema Entukuvu. Era abantu ne bongera buli nkya okuleetera Musa ebiweebwayo, awatali kuwalirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abawa ekiweebwayo kyonna abaana ba Isiraeri kye baaleeta olw'emirimu egy'okuweereza okw'omu watukuvu, okugikola. Era ne bamuleeteranga ebiweebwayo n'emyoyo egy'eddembe buli nkya.