Exodus 36:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo waaliwo embaawo munaana n'entobo zaazo eza ffeeza kkumi na mukaaga; entobo bbiri wansi wa buli lubaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo waaliwo embaawo munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga (16); ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaali embaawo munaana n'ebinnya byazo kkumi na mukaaga, bibiri wansi wa buli lubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo.