Exodus 36:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba Musa nti: “Abantu baleeta bingi okusinga ebyetaagibwa okukola omulimu Omukama gwe yalagira gukolebwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bagamba Musa nti, “Abantu baleeta bingi ne basukkiriza kw'ebyo ebyetaagisa okukola omulimu Mukama gwe yalagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagamba Musa nti: “Abantu baleeta bingi, ebisukkiridde ku byetaagibwa okumala omulimu, Mukama gwe yalagira okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bagamba Musa nti Abantu baleeta bingi ebisukkiridde ennyo okumala okukola emirimu, Mukama gye yalagira okukola.