Exodus 36:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'alagira ne balangirira mu lusiisira nti: “Tewaba n'omu, omusajja oba omukazi, ayongera kukola kantu konna olw'okutonera Ekitukuvu.” Abantu ne bayimirizibwa bwe batyo okwongera okuleeta,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’awa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olw’omulimu gw’Eweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna nti, “Omusajja era n'omukazi balekere awo okuleeta ebintu eby'okukozesa omulimu ogw'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta ebintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'alagira ne balangirira mu lusiisira lwonna nti: “Abasajja n'abakazi balekere awo okuwaayo eby'okukola ku Weema Entukuvu.” Abantu ne bayimirizibwa okuleeta ebintu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna, nti Omusaja era n'omukazi alekere awo okukola nate omulimu gwonna ogw'ekiweebwayo eky'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta.