Exodus 36:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafundi bonna abasingira ddala obukugu mu bakozi be baakola Ekisulo. Yakikola n'emitanda kkumi egy'olugoye olwa bafuta olulange, n'ewuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu, egirukiddwamu bakerubi, omulimu gw'omulusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola eweema ya Mukama n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Na buli muntu eyalina obusobozi, eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bagitungako bakerubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakozi abaali basingira ddala okumanya omulimu, be baakola Eweema Entukuvu. Baagikola mu mitanda kkumi egikoleddwa mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, ne bagitungako bakerubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli muntu eyalina omutima ogw'amagezi eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yagukola.