Exodus 36:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuwanvu bwa buli mutanda bwali bwa mikono abiri mu munaana, obugazi emikono ena; emitanda gyonna nga gya kipimo kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ng’omutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono abiri mu munaana (28), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda gyonna gyali gya kigero kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emitanda gyonna gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na bbiri obuwanvu, mita bbiri obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna gyali gya kigero kimu.