Exodus 37:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bezaleli yakola Essanduuku mu muti ogw'akasaana; emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu, omukono gumu n'ekitundu obugazi, omukono gumu n'ekitundu obusimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Bezaaleeri n’akola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ng’obuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bezaaleeri n'akola essanduuko ey'omuti gwa sita; obuwanvu bwayo bwali emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bezaleeli n'akola essanduuko ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bezaaleeri n'akola essanduuko ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo bwali emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu: