Exodus 37:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola emmeeza mu muti ogw'akasaana, emikono ebiri obuwanvu, omukono gumu obugazi, ate omukono gumu n'ekitundu obusimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola n’emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, n’obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola emmeeza ey'omuti gwa sita; obuwanvu bwayo emikono ebiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola emmeeza ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kinaana mu munaana obuwanvu, sentimita ana mu nnya obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola emmeeza ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo emikono ebiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu: