Exodus 37:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakolerako essowaani, ebijiiko, n'ensumbi n'entiba zaayo ez'okufukanga ekitone eky'okuyiwa; yakola bya zaabu omwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola mu zaabu omuka, ebikozesebwa eby’okubeeranga ku mmeeza: essowaani zaako, n’ebijiiko byako, n’ebibya eby’okufukanga ebiweebwayo eby’okunywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebintu ebyabeeranga ku mmeeza, mu zaabu ennungi: essowaani zaayo n'ebbakuli zaayo eby'okuteekamu eby'akaloosa; n'ensuwa zaayo, n'ensuumbi zaayo eby'okuttuluza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebikozesebwa ku mmeeza: essowaani n'ensaniya ez'okuteekako obubaane, ensuwa n'ebikopo eby'okukozesanga ku biweebwayo ebinywebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebintu ebyabeeranga ku mmeeza, essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ebibya byayo, n'ensuwa zaayo, okufuka nabyo, ne zaabu ennungi.