Exodus 37:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amatabi mukaaga gaayawukana nga gava mu mabbali gaakyo: asatu ku luuyi olumu, n'asatu ku luuyi olulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ng’omutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era amatabi mukaaga gaava ku mbiriizi zaakyo; amatabi asatu (3) ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olumu, n'amatabi asatu (3) ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olwokubiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amatabi mukaaga gaava ku njuyi zaakyo, amatabi asatu ku buli ludda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era amatabi mukaaga gaava ku mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olumu, n'amatabi asatu eg'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olw'okubiri: