Exodus 37:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettabi ebbereberye lyaliko ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli by'endoozi, buli kimu n'entwe n'ekimuli; n'ettabi eryokubiri lyaliko nalyo ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli by'endoozi buli kimu n'entwe n'ekimuli; bwe kityo ne ku matabi omukaaga gonna agaawukana okuva ku kikondo ky'ettawaaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi n’ebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, n’ebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo ky’ettaala lwe gaabuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi eryokubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli limu ku matabi omukaaga, lyaliko ebikopo bisatu, ebifaanana ng'ebimuli by'alumondi, okuli ebituttwa n'ekimuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli: bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo.