Exodus 37:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo entwe emu wansi w'amatabi agasooka, agava ku kikondo; entwe wansi w'amatabi abiri agaddirira, entwe wansi w'amatabi asatu agaddirira. Kyali bwe kityo ne ku matabi omukaaga agakyawukanako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutunsi ogumu gwali wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo ky’ettaala, n’omuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddirira, n’omutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'omutwe gwali wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agaakivaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wansi wa buli matabi abiri, ku matabi omukaaga agava ku nduli y'ekikondo ky'ettaala, waaliwo ekituttwa kimu, nga kya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omutwe gwali wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agaakivaako.