Exodus 37:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entwe n'amatabi byali kintu kimu n'ekikondo ky'ettawaaza, ate kyonna nga kikoleddwa mu kintu kimu mu zaabu omwereere, omukubeekube.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emitunsi n’amatabi gaako yabikola bumu n’ekikondo ky’ettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byali bya zaabu emu nakyo; kyonna kyali mulimu muweese gumu ogwa zaabu ennungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebituttwa n'amatabi byali bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini, nga kyonna awamu kya zaabu omulungi omuweese.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byali bya zaabu emu nakyo: kyonna kyali mulimu muweese ogumu ogwa zaabu ennungi.