Exodus 37:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era yakikolera ettawaaza musanvu, magalo n'obusowaani bwayo okubeera ebisirinza, byali bya zaabu omwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekikondo ky’ettaala n’akikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, ne zaabu ennungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakola ettaala musanvu ez'okuteeka ku kikondo, era n'akola ne makansi zaakyo, n'ensaniya zaakyo, nga bya zaabu omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, ne zaabu ennungi.