Exodus 37:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukola ekikondo ky'ettawaaza n'ebikikozesebwako, yakozesa talenta emu eya zaabu omwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakikola ne ttalanta eya zaabu ennungi, n'ebintu byakyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakozesa kilo amakumi asatu mu ttaano eza zaabu omulungi, okukola ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakikola ne ttalanta eya zaabu ennungi, n'ebintu byakyo byonna.