Exodus 37:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola omwaliiro gw'obubaani mu muti ogw'akasaana; gwali gwa mukono gumu obuwanvu n'obugazi omukono gumu, nga gwenkanankana ku njuyi zonna; obusimba emikono ebiri; amayembe gaagwo gaali ekintu kimu nagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakola ekyoto, mu miti gy’akasiya, okwoterezangako obubaane, nga kyenkanankana sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; n’obugulumivu bwa sentimita kyenda; n’amayembe gaakyo nga gali mu muti gumu nakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane eky'omuti gwa sita: obuwanvu bwakyo bwali mukono, n'obugazi bwakyo mukono, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo bwali emikono ebiri; amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ekyoterezo ky'obubaane, eky'omuti ogwa akasiya. Kyali kyenkanankana ku njuyi zonna: sentimita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne sentimita amakumi ana mu ttaano obugazi, ate sentimita kyenda obugulumivu. Amayembe gaakyo gaali ga muti gwe gumu ng'ogwakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)