Exodus 37:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakerubi baali ebiwaawatiro byabwe babyanjululizza waggulu, nga babikkirira Entebe y'Obusaasizi n'ebiwaawaatiro byabwe; nga batunuuliraganye, ng'amaaso gaabwe gatunuulidde Entebe y'Obusaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiwaawaatiro bya bakerubi yabikola nga bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikirizza ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. Bakerubi ne batunulagana nga boolekedde ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga batunuuliraganye; amaaso ga bakerubi gaatunuulira entebe ey'okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakerubi baatunuuliragana, era nga batunuulidde entebe ey'obusaasizi, n'ebiwaawaatiro byabwe ebyanjuluze ne bigibikka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi baatunuulira entebe ey'okusaasira.