Exodus 38:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye mu muti ogw'akasaana ng'enjuyi zaagwo zenkanankana: emikono etaano obuwanvu, emikono etaano obugazi; obusimba bwagwo emikono esatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yazimba ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa mu miti gy’akasiya, mita emu ne desimoolo ssatu obugulumivu, ne mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo eky'omuti gwa sita; obuwanvu bwakyo bwali emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo emikono esatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola alutaari ey'omuti ogwa akasiya, ey'okwokerangako ebiweebwayo. Yali yenkanankana ku njuyi zonna: mita bbiri n'ebitundu bibiri obuwanvu, ne mita bbiri n'ekitundu obugazi, ate mita emu n'ebitundu bisatu obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo eky'omuti gwa sita: obuwanvu bwakyo bwali emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo emikono esatu.