Exodus 38:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku luuyi olw'emambuka waaliyo entimbe nga za mikono kikumi obuwanvu, n'ebikondo byazo amakumi abiri n'entobo zaabyo amakumi abiri za kikomo, n'amalobo g'ebikondo n'emikiikiro nga bya ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku luuyi olw’obukiikakkono oluggya lwali obuwanvu mita ana mu mukaaga, n’ebikondo amakumi abiri, n’ebikolo byabyo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro gyako gyali gya ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eby'oluuyi olw'obukkiikkakkono emikono kikumi (100), empagi zaabyo abiri (20), n'ebinnya byazo abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entimbe zaali kye kimu ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa amalobo n'oluuma ebya ffeeza, ku bikondo byazo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono emikono kikumi, empagi zaabyo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.