Exodus 38:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku luuyi olumu olw'omulyango waaliyo entimbe za mikono kkumi n'etaano n'ebikondo byazo bisatu n'entobo zaabyo ssatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ludda olumu olw’omulyango kwaliko amagigi obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyatimbibwa eby'oku luuyi olumu oluliko omulyango byali bya mikono kkumi n'etaano (15); empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu (3);
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku buli ludda olw'omulyango waaliyo entimbe za mita mukaaga n'ebitundu mukaaga, ebikondo bisatu, n'ebinnya bisatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyatimbibwa eby'oku luuyi olumu oluliko omulyango byali bya mikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu;