Exodus 38:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku luuyi olulala olw'omulyango gw'oluggya waaliyo entimbe za mikono kkumi n'etaano n'ebikondo byazo bisatu n'entobo zaabyo ssatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku ludda olulala olw’omulyango nakwo kwaliko entimbe obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, era n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'oluuyi olulala bwe lutyo; eruuyi n'eruuyi ku mulyango ogw'oluggya waaliwo ebyatimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano (15); empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo ssatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'oluuyi olulala bwe lutyo; eruuyi n'eruuyi ku mulyango ogw'oluggya waaliwo ebyatimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.