Exodus 38:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entobo z'ebikondo zaali za kikomo, amalobo n'emikiikiro gy'ebikondo nga bya ffeeza, emitwe gyabyo nga mibikkeko ffeeza era n'emikiikiro gy'ebikondo eby'oluggya nga gibikkiddwa ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entobo z’ebikondo zaali za kikomo, naye amalobo n’emikiikiro gyako nga bya ffeeza, ne ku mitwe gyabyo nga kubikkiddwako ffeeza; bwe bityo ebikondo byonna eby’omu luggya byaliko emikiikiro gya ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebinnya eby'empagi byali bya bikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza; n'emitwe gyazo gyabikkibwako ffeeza; n'empagi zonna ez'oluggya zaateekebwako emiziziko gya ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebinnya by'ebikondo byali bya kikomo, ate amalobo n'oluuma n'emitwe gy'ebikondo bya ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebinnya eby'empagi byali bya bikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza; n'emitwe gyazo gyabikkibwako ffeeza; n'empagi zonna ez'oluggya zaateekebwako emiziziko gya ffeeza.